Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 171 listening Simba FM Live
News

Sisobola kulekulira munuune ku vvu – IGG Beti Kamya

June 19, 2023 · Mubiru Ali

Kaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya Turwomwe avuddeyo nakomba kwebaza eriibwa, kikafuuwe tajja kulekulira nga bangi bwebadde balowooza olw’ebigambo byeyayogera gyebuvuddeko bweyali akubiriza abantu babulijjo okwetaba mukulwanyisa enguzi kuba be babonaabona.
Kamya mu katambi kano yategeeza nti bbo bwebalwala batwalibwa bweru wa Ggwanga, emotoka mwebatambulira teziwulira binnya, tebamanyi bbeeyi yakukanika motoka wadde ey’amafuta.
Kamya ategeezezza nti nebwebukya n’alekulira oba nagobwa emotoka ye kika kya VX gyatambuliramu kati ajja kugikwasa anamuddira mu bigere anyumirwe nga naye bw’abadde anyumirwa.