Embeera y’eddwaliro ekkulu e Kayunga eyungula ezziga

Eddwaliro ekkulu ery'e Kayunga nga lino lyazimbibwa mu 1973 liri mu mbeera mbi ddala oluvannyuma lw'okuba nga ne gyebuli kati terifunanga kuddaabirizibwa. 

Ebintu ebisinga ebikozesebwa mu ddwaliro lino byatalagga dda omuli ebitanda nga n'emifaliso mikadde okukamala,  kw'ossa ebizimbe ebyefaananira bityo nga n'eddaali linaatera kugwira balwadde. 

Amalwaliro agali mu ttuluba lino agaazimbibwa mu biseera by'okufuna ameefuga ga Yuganda okutuusa ne kaakano gabadde tegaddaabirizibwanga wabula nga gyebuvuddeko Gavumenti yakola enteekateeka okulaba nga amalwaliro ag'engeri nga eno gazzibwa ku mutindo.

Amalwaliro gano mulimu ery'e Moroto. Nebbi, Entebbe, Kiryandongo, Ababaka,  Iganga,  ery'e Nakaseke,  Moyo ne Mityana. 

N'olwekye enteekateeka eno Gavumenti yagiteekamu obuwumbi nsanvu (70bn)  okusobola okuzza obuggya eddwaliro ly'e Kayunga. 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply