EKIZIMBE KIKUBYE NANNYINI KYO NEKIMUTTA E NANSANA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza ng’olunaku olwaleero ku kyalo Kabulengwa mu Nansana Municipality ku ssaawa 12:48 PM, ekizimbe ekyakalina ekibadde kizimbibwa kigydde nekikuba nannyini kyo Kaweesa Joseph, 29 nekimuttirawo. Omulambo ggwe gugiddwawo negutwalibwa mu Ggwanika lya Kampala Capital City Authority – KCCA e Mulago.
Ab’ekitongole kya Poliisi ekya Police Fire Prevention and Rescue Services bakyali mu kifo nga banoonya foreman agambibwa okuba nga akyabikiddwa amatafaali.
Share.

Leave A Reply