Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,271 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Pasita akwatiddwa lubona ng’anyumiza akaboozi mu kkanisa misana ttuku

June 2, 2017 · Mubiru Ali

Pasita akwatiddwa lubona mu bikolwa eby’obwenzi misana ttuku mu kkanisa nga yeerigomba  n’omukazi –  endiga ye gy’asumba.

Ekijjankunene kino kibadde ku kyalo Lutete ekisangibwa mu Ggoobolola y’e Nawanyago mu Disitulikiti y’e Kamuli, Pasita ategeerekese nga Kasoolo Richard ow’emyaka 40 bw’akwatiddwa lubona n’endiga ye nga banyumya akaakyagera misana ttuku mu biseera bya Lunch Hour.

Omu ku bagoberezi y’alabye  pasita ono era n’akuba enduulu okubaguliza ku balala wabula pasita oluwulidde enduulu n’assaako kakokola tondeka nnyuma era bwatyo n’amalamu omusulo.