Ekitongole kya KCCA kivuddeyo n’ebiragiro ku Takisi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kampala Capital City Authority – KCCA evuddeyo n’ebiragiro ebirina okugobererwa naddala entambula eyolukale ebigenda okugobererwa nga ezeemu.
1. Bannanyini motoka bakubirizibwa okuwa abakozi baabwe ebintu ebibayamba okwewera okukwatibwa ekirwadde kya #COVID-19 ebimala, okukebera ebbugumu ly’omubiri wamu n’ebintu ebirala ebikozesebwa okulondoola obubonero bw’ekirwadde kino.
2. Emotoka zino zakutwala ekitundu ky’abantu bezirina okuttika nga bassa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
3. Abayita Takisi tebagenda kukirizibwa ki siteegi oba mu Ppaaka. Abasaabaze bakusimba enyiriri mu bifo ebirabikiddwa obulungi ku siteegi era Takisi zakuyimirira mu bifo ebyo byokka ebirambikiddwa mita 2 okuva ku ndala.
4. Buli motoka yabasaabaze erina okubeera n’ebintu ebikozesebwa abasaabaze okunaaba engalo, era buli musaabaze ateekwa okwambala mask. Teri musaabaze atalina mask akirizibwa kubeera mu motoka era nga Takisi yonna enasangibwa n’omusaabaze atalina mask yakugibwako layisinsi ya PSV.


mersin escort

Share.

Leave A Reply