97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ekifaananyi kya Ssenteza kisiigiddwa ku kitebe kya NUP ekipya

Ekifaananyi kya Frank Ssenteza, omu ku bakuumi ba Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine eyattibwa mu kalulu ka 2021 kisiigiddwa ku bisenge ebiri mu Kitebe ky’ekibiina kino ekiggya ku Makerere – Kavule mu Kawempe.
Ssenteza yafa nga 27 December, 2020 oluvannyuma lwebigambibwa nti yatomerwa emotoka y’amaggye nnamba H4DF 2382 e Busega mu Kampala abebyokwerinda bwebaali bagezaako okutangira abakulembeze ba NUP wamu n’abawagizi baabwe okwolekera eddwaliro ly’e Lubaga abawagizi b’ekibiina abawerako gyebaali batwaliddwa okufuna obujanjabi.

Leave a Reply