eddwaliro lya nyange medical centre ligaddwa

Eddwaliro lya Nyange Medical Centre liggaddwa nga Poliisi enoonyereza ku musawo gwe balumiriza okusobya ku muwala mu kasenge k’abalwadde. Mmande, tiimu y’abaserikale abakola ku kunoonyereza ku misango ku poliisi y’e Nabweru nga bali ne maama w’omwana (amannya galekeddwa) baagenze ne bakuba eddwaaliro ebifaananyi n’okukola okubuuliriza okuva mu bakulembeze n’abatuuze b’ekitundu kino, oluvannyuma eddwaaliro ne liggalwa okwewala okutaataaganya okunoonyereza.

Oluvannyuma bazzeeyo ku poliisi ne bagatta bye baazudde ku fayiro y’omusango gw’okusobya ku muwala ow’emyaka 17.

Omusawo w’eddwaaliro eryo Julius Twesigomwe 29, gwe balumiriza okusobya ku muwala eyabadde agalamiziddwa mu kasenge k’abalwadde oluvannyuma lw’okulumbibwa obulwadde bwa asima (nga tassa bulungi).

Deus Maniragaba akulira bambega ba poliisi abanoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Nabweru, Twesigomwe gy’akuumirwa, yagambye nti okunoonyereza okusooka ku musango ogumuvunaanibwa kwawedde era ekiseera kyonna atwalibwa mu kkooti e Nabweru.

Yayongeddeko nti waliwo n’omusaayi ogwamuggyiddwaako ne gutwalibwa e Nagguru mu kkeberero lya Gavumenti kyokka n’agamba nti gwo gwakutwala ekiseera ekiwerako kyokka kino tekigenda kulemesa kkooti kugenda mu maaso.

Ye Nanyanzi maama w’omwana yakukkulumidde nnannyini ddwaaliro okumulekerera mu kiseera kino kuba talabikako kyokka nga waliwo ebyetaagisa ssente tazirina.

Nsabibwa ssente abaserikale basobole okutwala omusaayi gwa dokita e Naguru ku terekero lya Gavumenti naye sizirina kyokka dokita nnannyini ddwaaliro talabikako.

Omwana wange eddagala lye yaweereddwa okuziyiza okufuna akawuka akaleeta siriimu n’olubuto lya maanyi, abeera yeetaga okulya n’okunywa ennyo asobole okufuna amaanyi naye sirina busobozi.

Nsaba minisita w’abaana Florence Nakiwala Kiyingi, ebitongole n’abantu sekinoomu okunziruukirira n’obuyambi obwenjawulo mu musango guno kuba omwana embeera gy’alimu yeeraliikiriza.

Dr. James Ssemyalo, nnannyini ddwaaliro yagambye nti akolagana bulungi ne poliisi mu kunoonyereza era ye yalagidde n’omusawo we akwatibwe bamunoonyerezeeko.

Dr. Katumba Ssentongo Gubala akulira akakiiko akalondoola enneeyisa y’abasawo (Medical Council) yasabye abalwadde n’abakulembeze mu bitundu okubaloopera abasawo abeeyisa obubi mu “kiriniki” n’amalwaliro amanene bakangavvulwe okwewala obusiiwuufu bw’empisa obutuusa n’abasawo okusobya ku balwadde baabwe.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

23 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon