Eby’ekibuga Dubai biwuniikirizza Bannayuganda – Bannakkoodikkoodi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Bannakkoodikkoodi bawoomeddwa olunaku olwokusatu mu kulambula ekibuga Dubai nebakunakkuna, kino nno okuviira ddala ku mmotoka Bbaasi ezibatambuzza ezirimu empewo empeweevu  okubalambuza ekibuga Dubai nga okukirambula okukyetoloola oba kikutwalira Kilomita 74 .

Muno mwebalabidde Dubai omupya azimbiddwa ku kizinga ekyakolebwa obukolebwa ku mazzi (Man made Island) mu ebizimbe bi galikwoleka ebiwanvu okukamala n'enguudo eziyita wansi ne waggulu,okutuuka  mu Atlantis ku lubalaba lw'eriyanja li Persian Gulf nga wano abalambuzi naddala abazungu webeeyanikira obumwaanyi era Bannayuganda babasanze beeyanise mwattu. Awo oluvannyuma Bannakkoodikkoodi neboolekera  ku Dubai Marina awali akazimbe akalala akawanvu akaweza emyaliro 101,amaato ag'omulembe, ate ne boolekera ekifo ekiyitibwa Heritage Touch nga wano wakolebwa ebintu eby'enjawulo ebiraga obuwangwa bw'abawalabu, ebya Ffeeza, ebiwempe ebikyusa amabala. 

Ate oluvudde eyo neboolekera Dubai Mall ssemaduuka omunene okuzaama alimu buli kimu nga n'amaliiro g'emmere mw'ogatwalidde okwo ssaako n'okwelolera ku kazimbe akasinga obuwanvu mu nsi yonna  akayitibwa Burji Khalifa akaliko emyaliro egisoba mu kikumi naye ate ekisinze okubaggya enviiri ku mitwe ge mazzi agatyetyebulira amazima ku ndongo nga bweba evuga nga eno bwegatumbiira mu bbanga .

Share.

Leave A Reply