Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 147 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Police eyodde abasawo b’ekinnansi abafere – Mubende

July 15, 2016 · Mubiru Ali

Abasawo b’ekinnansi abafere 15 n,abakulembeze baabwe  bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa Police e Mubende .

Okusinziira ku Ssentebe w’abasawo Byoto Ismail abeegattira mu kibiina kya Intergrated Forum bakoze ekikwekweto kino oluvannyuma lw’okukizuula nti waliwo abasawo b’ekinnansi aberimbika mu mulimu gwabwe ekintu ekivumaganya omulimu gwabwe guno .

Byoto annyonnyodde nti abantu bangi bazze battibwa mu Disitulikiti ye Mubende ng’abantu bagenda mu maaaso n’okunenya abasawo b’ekinnansi songa abafere bangi ddala abatamanyi mulimu guno abagwerimbiseemu nga bakola ebikolobero bino ne badduka mu kitundu.

Ye Kawanga John nga yaakulira eby’okwerinda mu kibiina kya Intergrated Forum ategeezezzza nti ekikwekweto kino kigenda kutwala omwezi mulamba era bakyagenda mu maaso n’okufeffetta aberimbika mu mulimu guno .

Bo abasawo b’ekinnansi abafere bakwatiddwa batwaliddwa ku Police e Mubende .