Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 170 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Okwogera kwa Sir Edward Muteesa II ku lunaku lw’amefuga

October 9, 2018 · Mubiru Ali

Bannayuganda banange, kigenda kusigala mu byafaayo nti, nga enaku z’omwezi nga 9-October-1884 Ssekabaka Walugembe Muteesa I, eyagunjaawo ensi kati eyitibwa Uganda lwe yakisa omukono. Ssekabaka Muteesa I yaterekebwa mu masiro Nnabulagala Kasubi nga 25-October-1884.

Nabwekityo, ndi musanyufu nnyo olw’okuba nti nabbulwa mu Jjajange omuzira Ssekabaka Walugembe Muteesa. Ndi musannyufu nti nsobodde okuwangaala okutuusa olunaku olwaleero ne nsobola okuba ng’omujjulizi nga Abangereza batukwasa obuyinza oluvannyuma lw’emyaka 68 nga batufuga.

Mu bbanga eryo, tulabiddemu enaku wadde nga tubaddeyo n’essanyu ebiseera ebimu. Wabula twebaza Katonda omulungi olw’ekisaakye n’okwagala wamu n’emirimu abaminsane gyebakoze okulaba nti bakulaakulanya eggwanga lyaffe Yuganda.

Kati nga bwetufunye obwetwaze, nsaba tukolere wamu ffenna n’amaanyi gaffe mu buli kyetukola okulaba nti tukulaakulanya obwakabaka bwaffe obwenjawulo wamu ne Yuganda okutwalira awamu. Mbasaba enjawukana mu mawanga, eddiini oba langi zireme kubeera nsonga kwetusalirawo ebintu.

Katonda wa ensi yaffe Yuganda omukisa.

Sir Col. Edward Frederick William David Walugembe Mutebi Luwangula Muteesa II KBE

9th October 1962