Ebyafaayo by’omugenzi Rtd IGP John Kisembo

Omugenzi Rtd IGP John Kisembo yazaalibwa nga 1-October-1955 eri omugenzi Francis Xavier Sembaya ne Florence Byahurenda Amooti ku kyalo Kitema, mu muluka gw’e Mugalike, mu Disitulikiti y’e Kagadi, eyali Disitulikiti ya Greater Hoima mu budde obwo.

Emisomo gye yagitandika mu 1963 era emisomo gya pulayimale yagimaliriza mu 1969. Yegatta ku St. Mary’s College Kisubi mu 1971 – 1973, oluvannyuma yegatta ku St. Edwards S.S.S. gyayafunira ebbaluwa ya East African Certificate of Education (EACE) mu 1973. Yegatta ku Old Kampala S.S.S gyeyamalira eddaala lya “A” level, gyeyafunira East African Advanced Certificate of Education (EAACE) mu 1979. Yegatta ku Makerere University, gyeyafunira Ddigiri mu Sociology, mu 1979.

Nga 12 – March – 1980, yafulumira ku lukalala lwabaali bagenda okutendekebwa mu Poliisi ya Yuganda n’abalala 26 ku ddaala lya Cadet/Assistant Superintendent of Police, nga okutendekebwa kuno kwali mu ttendekero lya Police College e Daresalam. Bano kwaliko; Watter Anywar, John Masayi, Stephen Onyu, Charles Kimali, Jim Muhwezi, David Tinyefuza, Dominic Okoth Ongwen Omitto, John J. Rutanyoka, Godfrey Wasswa, John C. Odomel, George A. Odong, Thomas K. Isanga, Moses B. Enapu, Richard Bisherurwa, Herbert Karugaba, John A. Mulindwa, Elizabeth Muwanga, Sam E. Bwanika, Deo E. Nduru, Mathias Atubo, Richard A. Kabaizi, Daniel Mudumba, Chrysostom Bakesiima, Chris Bakiza neHenry Bamweyana.

Bweyamala okutendekebwa yasindikibwa e Gulu, nga 24/10/1980, gyeyatandikira okuweereza mu Poliisi. yagibwa e Gulu natwalibwa mu buvanjuba bwa Yuganda nga RSBO nga 23/07/1981, bwewayita emyezi 8 nakyuusibwa okuzibbwa ku Special Branch, Kampala nga 15th/03/1982 nga Deputy RSBO.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply