Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 126 listening Simba FM Live
News

Ennyonyi ebaddemu CDF wa Kenya Defence Forces egudde

April 18, 2024 · Mubiru Ali
Ennyonyi ekika kya nnamunkanga ey’eggye lya Kenya Defence Forces egudde nga yakasitula. Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Kenya ogwa Citizen TV, kigambibwa nti mu nnyonyi muno mubaddemu omuduumizi owokuntikko ow’eggye lya Kenya CDF Gen. Francis Ogolla. Kigambibw anti egudde mu bitundu by’e Kaben-Cheptulel ku nsalo ya Elgeyo Marakwet ne West Pokot eno ngebaddemu abantu 9.
General Francis Ogolla yalondebwa ku bwa Chief of Defence Forces (CDF) owa Kenya Defence Forces nga 28 April, 2023. Ono yaddira General Robert Kibochi, eyawummula oluvannyuma lwokuweereza emyaka 44 mu maggye nga emyaka egyasembayo 3 yali CDF. General Ogolla yegatta ku maggye ga KDF nga 24 April 1984 era nafulumizibwa ku ddaala lya 2nd Lieutenant nga 6 May, 1985.
Gavumenti ya Kenya tenafulumya kiwandiiko kitongole ku kabenje kano.