Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live
News

Abakulembeze ba Palamenti bagaanye okuteeka ekiteeso kyange ku order paper – Hon. Ssekikubo

August 16, 2024 · Mubiru Ali
Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza Palamenti nti wandibaawo ekkobaane okulemesa ekiteeso kye ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti 4 abegemulira akasiima ka kawumbi 1 mu obukadde 700 kuba Obukulembeze bwa Palamenti bukyagaanye okukiteeka ku Order Paper so nga enaku 14 mwekirina okuleetebwa mu Palamenti okuteesebwako ziggwako ku bbalaza nga 19-August-2024 so nga olunaku olwaleero Palamenti lwesembyeyo okutuula.
#ffemmwemmweffe