Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

katikkiro alambudde olusiisira lw’ebyobulamu

March 14, 2019 · Mubiru Ali

Katikkiro yalambudde olusiisira lw’eby’obulamu olwategekeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation ku Bulange, n’ekigendererwa eky’okugema abantu ba Ssaabasajja Kabaka obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B).

Mu kwogerakwe, Katikkiro yakubirizza abazadde okugemesa abaana endwadde, okubaliisa obulungi, wamu n’okubambaza engatto basobole obutakwatibwa ndwadde zinamutta. Yasabye abantu ba Kabaka okufaayo ku bulamu bwabwe nga bajjumbira okwekebeza kubanga olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lujja kubeera lwangu nga abantu balamu.

Mu ngeri yeemu, omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Omuwanika wa Buganda, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa naye bamugemye, era yakubirizza abantu ba Buganda okugenda bafune obujjanjabi obwa ssente entono obubateereddwawo Ssaabasajja Kabaka.

Ye Minisita w’eby’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okufaayo ennyo ku bulamu bw’abantu be.
Okugema Hepatitis B kukyagenda mu maaso mu bimuli bya Buganda buli mwezi.