Ebya Plan B mwemubimanyi sibyogerangako – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ayanukudde ababadde bamubuuza ku kiki ekiddako oluvanyuma lwakalulu.
Kyagulanyi agamba nti akadde konna agenda kulangirira oba bagenda mu Kkooti oba nedda wabula bbwo obujulizi bamaze okubukungaanya.
Era asambajizza ebibadde bimuteekebwako nti ayagala kutabangula Ggwanga nga banoonya Plan B nategeeza nti ye tayogeranga ku Plan A oba B. Bino Kyagulanyi abyogeredde munsisinkano nabakulembeze ba Gavumenti ezebitundu e Magere, gyabalabulidde okwewala okwerumaaluma.
Share.

Leave A Reply