Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 596 listening Simba FM Live

Dr. Jose Chameleone wakulabikako mu kkooti nga 30 July

July 7, 2020 · Mubiru Ali
Omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone ayitiddwa okulabikako mu Kkooti ewozesa Abali b’enguzi n’abakenuzi etuula ku Kkooti ya Buganda Road olw’okubeera n’ebyamaguzi ebitasasudde musolo ekikontana n’amateeka ga East African Community Management Act 2004.
Ono wakulabikako mu kkooti nga 30-July-2020. Kino kizze oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okusika emotoka ye gyajja mu South Sudan.