Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 169 listening Simba FM Live
News

Essomero eryalumbiddwa e Kasese lyazimbibwa Munnansi wa Canada – Minisita Janet

June 17, 2023 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni; “Abaana 17 bebafiiridde mu kisulo nga emirambo gyabwe gyayokeddwa nnyo nga tebasobola kutegeerekeka. Essomero lya bwannanyini nga lyazimbibwa Munnansi wa Canada Peter Hunter. Yasindika ababalirizi b’ebitabo okuyita mu bitabo byessomero era nga omulimu gwawedde ku lwakuna wiiki eno. Waliwo ekibinja ekyali kyagala okutwala essomero lino wabula balemererwa olwokuba nti lyazimbibwa kitongole kya bwannakyewa. Bino mbifuna okuva mu Minisita Muyingo n’Omuwandiisi omukulu mu Minisitule benasindise okukyalira essomero lino okuzuula ebirala kuba nze sasobodde kugenda kuba nkyali mu kkalantiini.”