DPP akirizza Ababaka Ssewanyana ne Ssegiriinya okweyimirirwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omuwaabi wa Gavumenti mu musango gw’obutemu oguvunaanibwa Ssegiriinya ne Ssewanyana ogw’okutta Joseph Bwanika ow’e Kankamba mu Kisekka B mu Disitulikiti y’e Lwengo, aggyeeyo obujulizi bw’abantu basatu bweyali yawaayo nga balumiriza ababaka bano.

Ono era ategeezezza nti okuyimbulwa kwa bano ku kakalu ka Kkooti takyakulinako mutawaana era kati ekirindiriddwa kwekulaba oba omulamuzi Lawrence Tweyanze anakkiriza okusaba kwabwe.

Kkooti egenze mu kuwummulamu nga yakuddamu okutuula ku ssaawa munaana ezomuttuntu.

Share.

Leave A Reply