Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Bana bafiiridde mu kabenje e Wobulenzi

October 8, 2018 · Mubiru Ali
Olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo motoka ekika kya Vitz nnamba UAS 163T eyabadde ewenyuuka obuweewo nga eva Luweero Ddereeva waayo yagezezaako okuyisa Trailer e Wobulenzi wabula bweyabadde tanagimalayo neyekanga emotoka eyabadde emuva mu maaso. Yagezezaako okusiba wabula Fuso nnamba UAR 162G negitomera kusonda bwetyo n’eva ku luguudo.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savanna Paul Kangave yagambye nti abantu bonna abana ababadde mu Vitz bafiiriddewo nga bategerekese nga Nankumbi Florence 28, Najuma patience 28, Lule Richard 30 ne Mbogo Issac 32.