Tony Mawejje azzeeyo mu Police FC

#SimbaSportsUpdates:
Omusambi wa Uganda Cranes Tony Mawejje 33, yegasse ku Uganda Police Football Club ku ddiiru ya myaka ebiri. Mawejje akomyeewo mu Police FC oluvannyuma lw’okusazaamu endagaano ye ne Kiraabu ya Kuwait eya AL-arabi Sports club.
Mawejje yatandaika okusamba omupiira mu 2004 Kampala City Council FC nga kati eyitibwa Kampala Capital City Authority Football Club (KCCA FC) okutuusa mu 2005 bweyegatta ku Police FC. Mu 2008 yegatta ku Uganda Revenue Authority (URA Football Club) gyeyava mu 2009 okwegatta ku ÍBV Vestmannaeyjar.

Leave a Reply