DPC w’e Agago agaliddwa lwakwetaba ku kabaga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Uganda Police Force mu bitundu by’e Aswa ekutte omusirikale waayo kubigambibwa nti yannyomoola ebiragiro District Police Commander (DPC) wa Disitulikiti y’e Agago Samson Lubega yakwatiddwa ku Sunday akawungeezi kubigambibwa nti yagenze ku kabaga ko Musuubuzi omu Francis Onek eyakomawo mu Ggwanga okuva e UK nga ayitira Dubai mu mwezi gwa March.
Onek omutuuze w’e Patongo Town Council yakoze akabaga kokumanyagana nga kabaddeko abantu 30 ne DPC. Onek yakomawo mu Ggwanga nga 17-March-2020 nga kigambibwa nti bamulagira yeyawule ku bantu era nga aba CoOVID-19 Task Force bwebagezaako okumutuukirira nadduka mu Disitulikiti.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Aswa Jimmy Patrik Okema agamba nti DPC Lubega yakirizza Onek okutegeka akabaga ekikontona n’ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni byeyateekawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19. Kigambibwa nti abatuuze bebamulugunyizza oluvannyuma lw’okulaba olukungaana nebategeeza ab’obuyinza.
Okema ne DPC Lubega bakuleetebwa e Kampala ku kitebe kya Poliisi bannyonyole ate bbo abaabadde ku kabaga basibiddwa mu kifo webabadde. Wabula Onek yalaze ‘certificate’ ab’obuyinza gyebabuusizzabuusizza.

Share.

Leave A Reply