Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 484 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

LOP n’Ababaka ba Opposition bagaaniddwa okuyingira e Lubowa

February 26, 2024 · Mubiru Ali

Ababaka ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Joel Ssenyonyi bagaaniddwa okuyinga mu kifo awazimbibwa eddwaliro lya Lubowa Specialized Hospital olunaku olwaleero nga wakayita emyezi 3 gyokka nga Palamenti eyisizza ssente obuwumbi 2 mu obukadde 700 nga zino zakulondoola mirimu egikolebwa mu kuzimba eddwaliro lino ezasabwa Ministry of Health- Uganda.
LOP Joel Ssenyonyi ategeezezza nti babadde bagenzeeyo kukola mulimu ggwabwe wabula abantu ababadde balina okubaggulira ggeeti okuyingira balondoole omulimu tebalabiseeko. Ono ayongeddeko nti kino kifo kya Minisitule ya Byabulamu naye yewuunyizza okusangawo abasirikale ba Uganda Police Force n’amaggye nga betoolodde ekifo kyonna nti era n’omulimu gwebagenze okulondoola nabo gubakwatako singa baliba balwadde nga betaaga obujanjabi.