DISITULIKITI 74 TEZIRINA DDWALIRO LYA GAVUMENTI – DR. JANE RUTH ACENG

Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo nategeeza nga Disitulikiti eziwerera ddala 74 mu Ggwanga lyonna bwezitalina Ddwaliro lya Gavumenti.
Agamba nti Gavumenti ekola kyonna ekisoboka okuzimba amalwaliro mu bitundu bino.
Agamba nti omukisa gwakusooka kuweebwa Disitulikiti eziri mu bizinga okuli; Buvuma ne Kalangala wamu n’ezo ezirina abantu abangi abasukka mu mitwalo 30 nga; lsingiro, Kakumiro, Kassanda, Oyam, Buyende n’endala.

Add Your Comment