Woofiisi ya Ssentebe wa NRM ewaddeyo obukadde 20 eri emipiira gy’Ebika

Emirimu gisanyaladde mu Kibuga Lira ng’omulambo gwa Engola gutuusibwa

Emirimu gisanyaladde mu Kibuga Lira oluvannyuma lw’omubiri gw’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’abakozi, emirimu n’ebyamakolero Col (Rtd) Charles Okello Engola Macodwogo, okutuusibwa mu nnyonyi namukanga ey’eggye lya UPDF eguggye e Kampala enkya yaleero ngesoose kwetoloola kibuga okulaga nti omubiri gw’omwana waabwe gutuusidde ku butaka. Abasuubuzi abawerako balabiddwako nga baggala amaduuka gaabwe okudduka okugenda ku kisaawe […]

Abaliisa Poliisi enguzi nebasimuulamu ebipapula by’engasi bubakeeredde

Abagoba b’ebidduka abaliisa abasirikale ba Uganda Police Force enguzi nebasiimuula ebipapula byengasi ebyabaweebwa boolekedde okusasulira ebipapula ebyo emirundi ebiri oluvannyuma lwokunoonyereza okwakoleddwa munda mu Poliisi nebakizuula nti waliwo Abasirikale b’ebidduka byokunguudo abasiwuuka empisa nebabba obuwumbi 5 bwebakyankalanya enkola y’okusasulirako engasi ebeera eragiddwa omugoba okusasula eya penalty payment system. Kigambibwa nti waliwo abasirikale ba Poliisi y’ebidduka […]

Abakosebwa amataba e Kisoro bakuweebwa ssente

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze, Esther Anyakun yagenda okukwasa famire ezakosebwa amataba mu Disitulikiti y’e Kisoro ssente ezaweereddwayo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Abafiirwa abantu baabwe bakuweebwa obukadde 5 buli famire ate abo abalumizibwa buli omu wakufuna akakadde kamu. Minisita wakukulemberamu ttiimu okugenda mu ttawuni y’e Chahafi mu Gombolola y’e Murora awali amaka agasoba […]

Amazzi gasazeeko oluguudo lw’e Masaka

Amazzi ganjadde mu mugga Katongo ku luguudo lw’e Masaka era oluvannyuma lwokuwabulwa Uganda Police Force abagoba basabiddwa ekitongole kya Uganda National Roads Authority -UNRA okweyambisa oluguudo lwa Mpigi—Kanoni—Maddu—Ssembabule—Masaka, okugenda e Masaka n’okudda e Kampala.

Omubiri gwa Minisita Engola gutwaliddwa e Lira

Omubiri gw’abadde Omubeezi wa Minisita ow’abakozi n’ekikula ky’abantu Trd. Col. Charles Engola guteereddwa mu nnyonyi ekika kya namunkanga ey’eggye lya UPDF enkya yaleero ku kisaawe e Kololo okutwalibwa e Lira ku kisaawe kya Lira Secondary School abakungubazi gyebagenda okugukubirako eriiso evannyuma. Oluvannyuma wano gujja kutwalibwa ku butaka mu Disituliki y’e Oyam gyagenda okuziikibwa.

Tusonyiye Pte Sabiiti – Engola Jr

Mutabani w’omugenzi Minisita Engola, Charles Engola Jnr ku lw’abaana b’omugenzi avuddeyo nategeeza; “Kitaffe yatusomesa okusonyiwa. Njagala okutwala omukisa guno okusonyiwa Pte Wilson Sabiiti.” Pte Sabiiti yakuba Minisita Engola amasasi agamuttirawo nga 2-May mu maka ga Minisita e Kisaasi. Okusinziira ku muganda w’omugenzi nga ye Samuel Engola agamba nti muganda we bamusanzeemu amasasi 28 agamukubibwa.

Katikkiro Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi. Bw’abadde atongoza ebyuma bino olwaleero e Kasubi mu masiro, Katikkiro yeebazizza Gavumenti ya Japan eyavujjiridde enteekateeka eno, bwe yawaayo $500,000, ng’eyita mu UNESCO, okugula ebyuma n’okubisiba mu masiro. Agambye nti abaweereza mu masiro basomeseddwa ku nkozesa y’ebyuma, kyokka abakugu baakugira basigalawo, babangule n’abasula […]

Aba famire ya Pte Sabiiti baagala mulambo gwa mwana waabwe

Aba Famire ya Private Wilson Sabiiti ku kyalo Mubali, Kijura Town Council mu Disitulikiti y’e Kabarole bavuddeyo nebalajanira eggye lya UPDF okubawa omulambo gw’omuntu waabwe baguziike. Bano era basabye Gavumenti ebategeeze oba nga balina kyebalina okuwaayo okusobola okuweebwa omulambo gw’omwana waabwe. Pte Sabiiti ku lwokubiri nga 2-May yakuba Minisita Rtd. Col. Charles Engola amasasi agamuttirawo […]

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga yemukungubazi omukulu mu kusabira omwoyo gw;abadde Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bakozi, emirimu n’amakolero Rtd. Col. Charels Engola nga aganzika ekimuli ku kkeesi e Kololo. Minisita Engola yattibwa omukuumi we nga 2-May-2023 nga yamuttira mu maka ge e Kyanja.