Byampuna! Nambi eyanjozayoza okumuwangula ate yaddukidde mu Kkooti? – Nalukoola
Omubaka wa Kawempe North Mmunnakibiina kya National Unity Platform Elias Luyimbazi Nalukoola ataddeyo okwewozaako kwe mu butongole eri Kkooti oluvannyuma lwa Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hajjat Faridah Nambi okuddukira mu Kkooti ngawakanya obuwanguzi bwa Nalukoola.
Nambi ayagala Kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nalukoola gwagamba nti yenyigira mu kubba akalulu, okutiisatiisa abawagizi be n’ebirala.
Nalukoola agamba nti yewuunya omuntu eyafunamu mu mivuyo egyali mu kalulu e Kawempe wabula nawangulwa bubi nnyo ate yadukidde mu Kkooti ngawakanya ebyava mu Kalulu. Ayongerako nti yewuunya omuntu eyavaayo namuyozayoza ate okugamba nti teyawangula.
#ffemmwemmweffe

