Bobi Wine olina okutwanjulira emotoka yo – IGG

Pinterest LinkedIn Tumblr +
EMOTOKA OLINA OGITWANJULIRA: Okusinziira ku Kitongole kya Kaliisoliiso wa Gavumenti Inspectorate Of Government, Omukulembeze wa National Unity Platform- NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Winealina okutuusa nga 31-March-2021 okukyanjulira emotoka ye etalina masasi eyamuguliddwa abawagizi be.
Okusinziira ku Leadership Code Act 2002; Omukulembeze yenna anayanjulanga ebyobugagga bwe n’enyingiza mu myezi esatu oluvannyuma lw’eteeka okuteekebwa mu nkola olwo buli luvannyuma lwa myaka 2 mu mwezi gwa March wakuwangayo mu buwandiika ebyobugagga bwe, enyingiza y’ensimbi, ebintu ebikalu byalina ye oba Mukyala we oba omwana oba omuntu gwalabirira.
Etteeka lino ligamba nti abantu Omukulembeze bavunaanyizibwako oba Mukyala we, Omwana oba gwalabirira balina eddembe lyabwe okubeera nebyobugagga.
Share.

Leave A Reply