Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 137 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Abavubi basattira lwa kubakolamu kikwekweto – Mityana

June 29, 2016 · Mubiru Ali

Abakulira eby’obuvubi mu disitulukite ye Mityana bakoze ekikwekweto nebabowa obutimba obumenya amateeka g’ebyobuvubi ku myalo egiwerako ku nnyanja Wamala .

Ekikwekweto kino kikoleddwa ku myalo munaana (8) ne ku bizinga bibiri (2) okuli ; Nkona , Bukanaga , Butebi , Kalyankoko, Kimuli , Kyandaalo n’ewalala era nga obutimba obukwatiddwa bumannyiddwa nga  Kambamagi obutakkirizibwa .

Akulira eby’obuvubi e Mityana Elijah Ssenyojo agamba nti newankubadde nga bakola ebikwekweto bino naye obutimba buno obumenya amateeka buyingizibwa wano  mu ggwanga enkya n’eggulo .

Ekikwekweto kino kiggyidde  mu kiseera nga emyalo egiwerako ku nnyanja Wamala gyaggalwawo ab’ebyokuvuba olw’ebbula n’okukendeeera kw’ebyennyanja kyokka kino Elijah akitadde ku bavubi okukola omulimu guno gwokka ogw’okuvuba .