Bobi Wine bwotalabikako mu Kakiiko tugenda kugoba okwemulugunya kwo – Mariam Wangadya

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission Wangadya Mariam avuddeyo nategeeza bga bwagenda okugoba okwemulugunya kwa Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulangyi Ssentamu aka Bobi Wine.

Kyagulanyi abadde alina okulabikako mu Kakiiko kano olunaku olwaleero wabula talabiseeko okuwa obujulizi ku musango gweyatwalayo ngawakanya ekya Poliisi okuyimiriza ebivvulu bye.

Kyagulanyi asindise Bannamateeka be George Musisi ne Benjamin Katana okutegeeza Akakiiko nga bwabaddeko emirimu gy’ekibiina emitongole gyalina okutuukiriza nga gyali gyategekebwa dda ngera yasuubiza okubeerawo.

Kino kiwaliriza Wangadya okuwa Kyagulanyi omukisa okusembayo nayongezaayo okuwulira oludda lwe wabula nategeeza nti singa talabikeko, okwemulugunya wakukugoba.

Wabula Wangadya tawadde ddi lwebanaddamu kumuyita okutuusa nga Akakiiko kafunye akadde.

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply