Besigye ne Lutale olina kubayimbula kuba basusizza enaku 180 ku alimanda – Lukwago
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya baleeteddwa mu Kkooti e Nakawa enkya yaleero era Munnamateeka waabwe Elias Lukwago nasaba omulamuzi bano bayimbulwe ku kakalu ka Kkooti oluvannyuma lwokumala enaku ezisoba mu 180 ku alimanda nga tebasindikibwa nga mu Kkooti enkulu okuvunaanibwa.
Oludda oluwaabi olunaku olwaleero lubadde luzze nenongosereza mu misango era nga lwagala basindikibwe mu Kkooti Enkulu batandika okuvunaanibwa wabula Bannamateeka bagamba nti Kkooti y’e Nakawa tekirina kirala kyerina kukola wabula okuyimbula bano ku kakalu ka Kkooti nga Ssemateeka bwakirambika.
Bannamateeka bagamba nti okuva nga 20- November – 2024 Besigye ne Lutale bwebasimbibwa mu GCM ziba zisusse enaku 180. Bannamateeka bategeezezza Omulamuzi Christine Nantege nti ensala ya Kkooti Ensukulu eyalagira abantu babulijjo obutavunaanibwa mu Kkooti z’amaggye neragira fayiro zaabwe okuzzibwa mu Kkooti ezabulijjo kitegeeza nti bayongereza bwongereza ku byali bigenda mu maaso.
Bya Christina Nabatanzi

