Besigye mwamukwata bubi – Sipiika Among

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among avuddeyo nanenya nnyo ab’ebyokwerinda olw’engeri gyebaakuttemu Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye gy’agamba nti yali eweebuula ekitiibwa kye n’okulinyirira eddembe lye.
Sipiika alagidde Ssaabawolereza wa Gavumenti okuwabula ebitongole by’ebyokwerinda ku ngeri entuufu ey’okukwatamu abantu si bakulembeze bokka wabula buli muntu awatali kutunuulira Kibiina kyabyabufuzi kuba bonna Bannayuganda.
Share.

Leave A Reply