Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 477 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Ssaabasajja asaasidde Canon Ddungu olwokuviibwako mukyalawe

July 1, 2020 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka asaasidde Canon James Ddungu olw’okuviibwako mukyala we Ruth Nambweere Ddungu.

Mu bubaka bwatisse Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ow’ekisa ate nga alaga abalala omukwano.

Mu bubaka bwe, Katikkiro agambye nti EKitiibwa kya Buganda kitandikira mu maka era Canon Ddungu ne Mukyala we tubayigiddeko okutebenkeza amaka n’okubeera abakozi. Agasseeko nti omukyala omukozi aleetera amaka okwezimba.

Omugenzi aziikiddwa Busega mu Kyaddondo.