Bbomu bbiri zizuuliddwa mu kibuga Kampala

Bbomu bbiri zizuuliddwa enkya yaleero mu kibuga Kampala kumpi n’ekizimbe ku plot 66 Kampala Road okuliraana FidoDido nga zizingiddwa mu kaveera.

Luke Oweyisigyire omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano agambye nti ekitongole kya Poliisi ekitegulula bbomu kituuse mangu mukifo kino nezigibwawo. Luke agamba nti era ku kizimbe kyekimu wasangibwawo bbomu 3, nabwekityo ekizimbe kigaddwawo okumala ebbanga eritali ggere okuwa poliisi obudde okunoonyereza okusobola okulaba nti tewali bbomu ndala era bwatyo nasaba abantu bonna okutegeeza Poliisi singa balaba ebintu byebatategeera.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Muntu musajja mutitiizi – Kanyeihamba