Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 507 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

hope mukasa anyumya ebyamutuukako

December 6, 2018 · Mubiru Ali

Omukungu Hope Mukasa anyumya ebyaliwo ku Lyato eryabbira: “Essimu eyasooka okunzijira mu mutwe yali ya Katikkiro kubanga ngimanyi bulungi ate n’ekirala nalowooza nti alina obusobozi okukubira abakwatibwako ab’enjawulo bajje batuyambe. Namukubira naye n’awuliziganya n’abakulu ab’enjawulo ne bajja okutuyamba. Abakuumaddembe abo bakolera ddala omulimu munene”
Nali ntudde ne Iryn era nga twewuunaganya era nemugamba nti ‘eeh olowooza tetuugweyo?’ Twali tukyakyogerako, eryato ne lyewunzika.
Okuwuga kwatwaawukanya nagenda okutuuka ku lukalu nga Namubiru ali mu kunoonya ng’abuuza “Hope Mukasa aliwa?”.
Hope Mukasa yaliko Maneja wa Namubiru ne Juliana Kanyomozi nga bakyali mu kibiina kya I-J mwe baatandikira okuyimba era baasigala baamukwano.
Yagambye nti okugenda ku lyato (Boat cruise) kukolebwa abantu ababuli kika, emyaka n’eddiini noolwekyo kibeera kibi okubavumirira.