Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,059 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

kamigisha yasuuliddwa ebweru

November 6, 2020 · Mubiru Ali

Okulonda kwa Ssentebe w’abavubuka n’olukiiko lwe mu ggwanga lyonna kwaggweredde mukusikaŋŋana bitogi wakati wa Poliisi ekkakkanya obujagalalo n’abavubuka lwa kugaana Blaise Kamigisha Munnakibiina kya NRM kwesimbawo kuvuganya ku bwa Ssentebe.

Blaise yasuuliddwa Akakiiko k’ebyokulonda nga bagamba nti asussa mu myaka 30 so nga Ssemateeka w’okulonda kw’abavubuka alagira abesimbyewo okuba wakati w’emyaka 18 okutuuka ku 29.

Abavubuka bagamba nti Kamigisha okuva ku Bukiiko bw’ebyalo mu Disitulikiti y’e Isingiro gyava abadde akozesa National ID eriko emyaka 30 wabula bwe yatuuse kukulonda kw’eggwanga n’afuna ID eraga nti alina emyaka 28.