Bazukkulu ba Gabunga basuubizza okuzimba offiisi ye
Bazzukulu ba Gabunga nga bakulembeddwamu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Hon. Shamim Malende Munnakibiina kya National Unity Platform akawungeezi keggulo bakyalidde ku Mukulu w’Ekika kye Mmamba Gabunga owa 38 Omutaka Mubiru Ziikwa V mu Maka ge agasangibwa e Kabowa.
Abazukkulu beyamye okudaabiriza offiisi za Gabunga e Bubiru ne Ssagala Buwaya.
Abazukkulu bawerekeddwako Katikkiro w’Ekika kye Mmamba n’Omukulu w’Essiga lya Mugula.

