Bannayuganda temugeza okwenyigira mu kwekalakaasa e Sri Lanka – Minisita Mulimba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga John Mulimba avuddeyo nalabula Bannayuganda abawangalira e Sri Lanka obutenyigira mu kwekalakaasa kwa Bannansi beeyo ekyawaliriziddwa n’omukulembeze okudduka mu Ggwanga.
Minisita okwogera bino kidiridde Minisita ow’ekisiikiriza ku ludda oluwabula Gavuementi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Hon. Muwada Nkunyingi okusaba Gavumenti ennyonyole Eggwanga ku ngeri y’okununulamu Bannayuganda abakonkomalidde e Sri Lanka mu bwegugungo obugenda maaso mu nsi eyo.
Share.

Leave A Reply