Bannamateeka ba NUP bakedde ku Kkooti y’Omulamuzi e Kawempe
Bannamateeka ba Bannakibiina ki National Unity Platform nga bakulembeddwamu Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende batuuse dda ku Kkooti y’Omulamuzi eye Kawempe esangibwa e Kanyanya ngolwaleero omulamuzi lwasuubirwa okuwa ensala ye kukusaba okwokweyimirirwa okwa; Eddie Mutwe., Achileo Kivumbi, Bobi Giant, Saudah Madaada, Alex Waiswa Mufumbiro, Kaija Doreen, Lukenge Sharif, Kaweesi Tonny, Nyanzi Yasin ne Sserunkuuma Edwin aka Eddy king Kabeja.

