Olunaku olwaleero ba Ssentebe ba zi Divizoni ezikola Kampala basisinkanye Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago wamu ne Nnakulu wa Kampala Capital City Authority – KCCA muky. Dorothy Kisaka nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri gyebayinza okuyambamu ba Kkansala 461 okuva mu miruka 99 okukulembera obulungi ekibuga. Nnankulu asuubizza okukolera awamu nabo okulaba nti bakulaakulanya ekibuga Kampala.
Bammeeya ba Divizono basisinkanye ED wa KCCA
Share.