Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM
News

Pulezidenti Museveni agenda mu luwummula olwobuwaze

June 8, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayagaliza Bannayuganda olunaku lw’abazira olulungi, wabula nategeeza nti ku lunaku olwokubira yatandika okufuna obubonero bwa ssenyiga, wabula teyabufaako kuba yalina enkiiko Entebe n’okukola ku kwogera kwe okwomuzinzi eri Eggwanga.
Pulezidenti Museveni agamba; “Olunaku lw’enggulo ku nkya, obubonero bweyongedde mu ludda lw’ennyindo olumu olwaddyo. Wano nayise abasawo bange okunkebera balabe oba corona. Bakoze sample 3 era emu neraga nti nina COVID-19, era bwenabadde ngenda e Kololo natambulidde mu motoka ndala ne Maama mu ndala. Bwenavudde e Kololo, kyakakasiddwa nti nina COVID-19. Neyawudde era nga kati ndi Nakasero, emirimu gyange egyaleero n’enkya ku lunaku lw’abazira e Luweero ngikwasizza Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister. Olwaleero ngenze ku luwummula olwobuwaze olwokubiri mu myaka 53.”
Nateekako omukono; Yoweri K. Museveni Ssaabalwanyi 8/6/2023