Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 238 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Ba Kansala bateeseze mu nnimi ennansi – Katikkiro Mayiga

June 20, 2016 · Mubiru Ali

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awagira ekya ba Kansala okuteeseza mu nnimi ennansi basobole okutegeera obulungi enkola wamu n’empeereza ennungi eri abantu bebakiikirira. Bino abyogedde nga asinziira ku ngeri ba Kansala gyebaatuuyanyeeemu n’olungereza ggyo ly’abalamu nga baluba ebirayiro ky’agamba nti singa tebateesezza mu lulimi nnimi zebategeera kyakuzinngamya empeereza yaabwe.

Katikkiro ayongerako ย nti okwogera obulungi Oluzungu ssi bwebumanyi wabula kulaba nga abalondedddwa basobola okuweereza abantu obulungi.

Katikkiro okwogera bino abadde mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange Mengo nga Minisita webyensinbi Owek Robert Wagwa Nsibirwa asoma embalirira ya Buganda ey’omwaka 2016 /2017 esoba mu buwumbi 73.

  1. Olukiiko luno lwetabiddwamu Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Minisita wa Kamp Kampala Betty Kamya, omubaka Kiwanda Ssuubi, Joseph Ssewungu n’abagenyi abalala.