Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 891 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

UNRA ekirizza bbaasi okukozesa olutindo lw’e Katonga

September 5, 2023 · Mubiru Ali
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ki Uganda National Roads Authority – UNRA kyaddaaki kikirizza bbaasi okuddamu okuyita ku lutindo lw’okumugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Bbaasi zibadde zimaze akaseera nga zigaaniddwa okuyita ku lutindo luno olubadde lutereezebwa nga kino kyaddirira enkuba okulwonoona.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa aba UNRA, obuzito obutasukka ttaani 30 bwebukyakkiriziddwa okuyita ku lutindo luno era basabye abagoba b’ebidduka okugoberera ennambika eriwo ku nkozesa yalwo nga bwebalumaririza.