Breaking
News: Wuuno omusajja atanywa guteeka, muganzi we Side Dish mukazi we atali mu maka amuggyeeko ekyalaani kye yamugulira lwakufuna lubuto lutali News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 278 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Kitalo! Omuwagizi wa NRM eyakumako omuliro afudde

March 10, 2025 · Mubiru Ali

Kitalo!

Benjamin Agaba, omuwagizi wa National Resistance Movement – NRM eyekumako omuliro mu maaso ga ggeeti ya Palamenti omwezi oguwedde ngalumiriza ekibiina kye obutamuyamba afudde.

Ono yafiiridde mu Ddwaliro ly’e Kiruddu gyabadde afunira obujanjabi.

Benjamin yavaayo nategeeza nti yafiirwa ebintu bye nawokubeera ne Kitaawe lwakuwagira NRM era ngalumiriza abawagizi ba National Unity Platform okukikola nti wabula bweyaddukira ku kitebe kya NRM okuyambibwa bamugoba bugobi.

#ffemmwemmweffe