Entries by Mubiru Ali

Abawagizi ba NRM e Gulu baanirizza Pulezidenti Museveni

Abawagizi ba National Resistance Movement – NRM baanirizza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveniku Watoto Grounds mu Kibuga Gulu wagenda okusinsikanira abakulembeze ba NRM wamu n’abo abakwata bendera y’ekibiina ku bifo eby’enjawulo. Bano beeze oluguudo saako n’okulwalirira engoye ezakyenvu okumulaga obuwagizi. #Sevo-lution #SecuringYourFuture #Sevo

Omubaka Allan Ssewanya akwatiddwa

Omubaka akiikirira Makindye West era akwatidde National Unity Platform – NUP Allan Ssewanyana akwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti abadde amenya ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya #COVID19 mu kunoonya akalulu. Ono akuumirwa ku Kibuye Police Station.

Agambibwa okufera Basumba banne akwatiddwa

Omusumba w’Abalokole Sirajje Ssemanda owa Revival Ministries Church, Bombo akwatiddwa ku bigambibwa nri yafera bannanyini masomero 400 agobwannannyini n’abazadde abasoba mu 100 abalina abaana abatalina mqasirizi obuwumbi obusoba mu 4 nga abasuubiza okubafunira ababaweerera, okubatwala ebweru wamu n’okubayunga ku Operation Wealth Creation – Uganda

Bobi Wine ne Barbie betabye mu misa e Soroti

Akwatidde National Unity Platform – NUP bendera ku kifo kya Pulezidenti Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine wamu ne Mukyala we Barbie Kyagulanyi begasse ku bakiriza mu misa ku St. Patrick Madera, mu Disitulikiti y’e Soroti. Olwaleero wakubeera nenkungaana mu Disitulikiti y’e Kumi, Sironko ne Mbale.

Ebyokwerinda mu kibuga Mbale binywezeddwa

Ebyokwerinda mu Kibuga Mbale binywezeddwa nga abasirikale ba Uganda Police Force balabiddwako nga balawuna elibuga kino nga betegekera Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine agenda okukubayo olukungaana okwogerako eri abawagizi be.

Lt. Col. Nakalema tuyambe Pastor Mondo yatufera – Hands Across the World

Waliwo ekibinja ky’Abasumba b’Abalokole wamu n’Abakulu bamasomero abegattira mu kibiina kyabwe ekya Hands Across the World abaddukidde mu Kakiiko akateekebwawo okulwanyisa obuli b’enguzi n’obukenuzi mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda akulirwa Lt. Col. Edith Nakalema nga baagala abayambe ku Basumba Mondo Mugisha Franklin ne Silaj Ssemando owa Bombo Revival […]