Kitalo! Eyaliko Minisita Kiryapawo afudde

Kitalo!
Eyaliko Minisita era Electoral Commissioner Dr Thomas Sisye Kiryapawo afudde. Ono afudde kkookolo womubyenda ku Ddwaliro lya TMR International Hospital, Kampala ku myaka 78. Okusinziira ku Mw. Micheal Kirya, agamba nti Kiryapawo abadde mulwadde okumala akabanga. Kiryapawo yazaalibwa mu 1943 mu Disitulikiti y’e Budaka. Omubiri ggwe gwakutwalibwa mu maka ge mu Kampala nga 21-April okukuma olumbe, gutwalibwe mu kkanisa nga 22-April okusabirwa okuva ku ssaawa nnya ez’okumakya gyegunagibwa gutwalibwe Iki-Iki mu Budaka aziikibwe nga 24-April.
Kiryapawo yatandika nga veterinary oficer owa Iganga-Njeru oluvannyuma nafuulibwa commissioner Artificial insemination ow’e Entebe. Yawummula emirimu nayingira ebyobufuzi mu 1995 nawangula ekifo ky’omubaka owa Budaka County mu by-election oluvannyuma lw’okufa kw’omubaka Sam Gole eyali akiikirira ekitundu kino. Kiryapawo yaddamu nalondebwa mu kifo kino mu kalulu ka 1996 nalondebwa ng’omubeezi wa Minisita ow’ebyenfuna avunaanyizibwa ku Ntandikwa. Oluvannyuma yalondebwa ng’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byobugagga ebyomuttaka wamu n’ensonga z’obuwangwa.
Yawummula ebyobufuzi mu 2001 nalondebwa nga mmemba ku Kakiiko k’ebyobulamu mu 2002, oluvannyuma nalondebwa nga ng’Omubaka wa Yuganda mu Bungereza gyeyava naleetebwa mu Kakiiko k’ebyokulonda mu 2006 okumala emyaka nga 7.
Yaliko omubaka wa Yuganda owa Republic of Ireland. Abadde mufumbo, nga mukyala Loi Kiryapawo amulinamu abaana 5 nga 4 bali bweru waggwanga.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply