Entries by Mubiru Ali

Bobi Wine agaaniddwa okuyingira ttawuni y’e Moroto

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa Facebook nategeeza nga Uganda Police Force wamu n’amaggye bwebimukuumidde ku Roadblock okumala eddakiika asatu nga abadde alina okubeera ku Leediyo mu Ttawuni y’e Moroto nga bamugaanyi okuyingira ttawuni eno n’abawagizi be.

Amuriat tuyambe tuve mu nnyumba ez’essubi

Abatuuze mu Disitulikiti y’e Kaberamaido basabye Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Patrick Oboi Amuriat abayambe bwatuuka mu ntebe bakyuuse ku mbeera gyebawangaliramu omuli n’okubayamba begobeko ennyumba ez’essubi.

Norbert Mao yezoobye ne Poliisi e Kasese

Munnakibiina kya Democratic Party Uganda – DP Norbert Mao olunaku olwaleero yezoobye ne Uganda Police Forcenga ebadde eduumirwa DPC, Busheija Kanumi abadde agezaako okumugaana okwogerako n’abatuuze b’e Kabatunda – Kirabaho Town Council mu Busongora North, mu Disitulikiti y’e Kasese. Abatuuze babadde bamulindiridde ku luguudo gybadde ayita okugenda ku kisaawe okusaba akalulu. Oluvannyuma awadde Bannakibiina abaggya […]

Pulezidenti Museveni ayaniriziddwa mu West Nile

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga atuuka ku kisaawe kya Nebbi Town Council Secondary School okusisinkana abakulembeze ba National Resistance Movement – NRM wamu n’abo abakwata bendera okuva e Nebbi, Zombo ne Pakwach mu West Nile. #SecuringYourFuture #Sevo-lution #Sevo

Asan Kasingye ngenda kufuula IGP – John Katumba

Eyesimbyeewo ku bwa Pulezidenti Katumba John avuddeyo ku mukutu gwa Twitter nasuubiza AIGP Asana Kasingye ekifo ekinene mu offisi bwanawangula obwa Pulezidenti. Ono amusuubizza okumufuula IGP wa Uganda Police Force olw’omulimu omulungi gwakola. #Katumba_Ku_Ballot

Kanyamunyu asaliddwa ekibonerezo kya myaka 5

Mathew Kanyamunyu 43, asaliddwa ekibonerezo kya myaka 5 n’omwezi gumu oluvannyuma lw’okukiriza omusango gwa Manslaughter. Bannamateeka we Peter Kabatsi asabye omulamuzi amukendereze ku kibonerezo nga agamba nti guno gwemulundi gwa Kanyamunyu ogusoose okuzza omusango, yagezaako okutaasa obulamu bw’omugenzi, alina puleesa, alina n’abaana 4 balabirira.