Entries by Mubiru Ali

Ssente zammwe eza Mask bazibba – Bobi Wine

Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine: “Ndi Mubaka wa Palamenti, twayisa embalirira okubagulira mask mwenna Bannayuganda. Ndabe abasinga wano temuzirina. Ensonga eri nti abantu mu Gavumenti babba ssente zino” Bino abyogeredde mu Disitulikiti y’e Butaleja.

Pastor Mondo ne Kusasira batwaliddwa ewa Col. Nakalema

Omuwabuzi wa Pulezidenti Catherine Kusasira Sserugga wamu ne Musumba w’Abalokole Pastor Franklin Mondo Mugisha balabiseeko mu maaso g’Akakiiko akateekebwawo amaka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda okwennyonyolako ku bigambibwa nti bafera abantu obuwumbi 4.

Amuriat yezoobye ne Poliisi emugaana okugenda e Kitgum

Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat awakanyizza e kya Uganda Police Force okumugaana okubeera e Kitgum gyalina okubeera olunaku olwaleero nga bamugamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alina okubeerayo nga baagala asookere Lamwo gyalina okubeera olw’eggulo n’oluvannyuma akomewo. Poliisi esazeewo kuziba enguudo emulemese okuyingira Disitulikiti eno wabula nagukuba ekimooni. Aduumira Poliisi y’e […]

DP yakujjawo omusolo ku bizineensi entono – Mao

Munnakibiina kya Democratic Party Uganda, Norbert Mao avuddeyo nategeeza abantu b’e Isingiro nga Democratic Party Uganda – DP bwegenda okulaba nti bizineensi entonotono bwezigenda okubeera eza Bannayuganda abagwira basigaze bizineensi ennene. Era ayongeddeko nti DP siyakusasuza Bannayuganda layisinsi ku bizineensi entono okubasobozesa okwetongola.

Poliisi e Bugiri ekubye omukka ogubalagala mu Bannamwulire

Uganda Police Force e Bugiri nga edduumirwa eyaliko Omuduumizi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police Frank Mwesigwa ekubbye omukka ogubalagala mu Bannamawulire bwebadde egumbulula abawagizi ba Kyagulanyi Ssentamu Roebrt aka Bobi Wine. Kyagulanyi olwaleero abadde alina okukuba olukungaana e Bugiri.

South Sudan 1-0 Uganda Cranes

#SimbaSportsUpdates; South Sudan 1-0 Uganda Cranes, Munnansi wa South Sudan eyazaalibwa mu Yuganda Tito Okello yateebye Yuganda Ggoolo. Yuganda esigadde n’abasambi10 oluvannyuma lwa Khalid Aucho okuweebwa kkaadi emyuufu.

Abawagizi ba Bobi Wine bamulaze obuwagizi e Mayuge

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olunaku olwaleero okunoonya akalulu akutandikidde mu Ttawuni y’e Musita mu Disitulikiti y’e Mayuge oluvannyuma ayolekere e Iganga ne Bugiri. Abawagizi ba Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mu Disitulikiti y;e Mayuge beyiye ku kitebe kya […]

EC esisinkanye abasimbyeewo ku bwa Pulezidenti ku SOPs

Akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission Uganda katandise okusisinkana abasimbyeewo ku bwa Pulezidenti okwogerezeganya nabo ku ngeri gyebasobola okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo okugoberera okuziyiza okusaasana kw’ekirwadde kya #COVID-19 wamu n’obukambwe obukozesebwa Uganda Police Force ku besimbyeewo abamu. Era bakukiriziganya ku nsonga y’e Kitgum awalina okubeera aba National Resistance Movement – NRM n’aba Forum for Democratic Change – […]