Entries by Mubiru Ali

Pulizidenti Museveni asiimye omusirikale wa Poliisi

Omukulembeze w’eggwanga HE. YK Museveni asiimye omusirikale wa Poliisi ASP Twinomugisha Steven namukuza okutuuka kuddaala lya Superintendent wa poliisi. Yamuwadde n’omuddaali ogwa ‘Jubilee’. Ono yasiimiddwa olw’omulimu gweyakola mu ‘Greater Masaka’ mukulwanyisa obutemu naddala bweyasitukiramu okudduukirira Ms. Resty Nakyambadde omusawo eyali alumbiddwa ekibinja kyabatemu nga kikulembeddwa Muhammad Kiddawalime eyali anoonyezebwa nga yatoloka mu kkooti e Masaka.

Ebibaluwa bikiro kitwala omunaku bituuse Entebe mu Wakiso

Poliisi y’e Mpala Entebe efunye okwemulugunya okuva mu batuuze kunsonga z’ebibaluwa ebitandise okusuulibwa mu bitundu byabwe nga babatiisatiisa. Mu bibaluwa bino babasaba ssenete ez’enjawulo era ng’abo abanalemererwa banalaba ekinabatuukukako nga batandise ennumba zaabwe. Abatuuze basabiddwa okunnyuka nga obudde bukyali wamu n’okukozesa amakubo ag’olukale wamu n’okukozesa entambula zebekakasa ngabava ku mirimu.

IGP Ochola aloonze akulira ‘Flying Squad’ omupya

Omuduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola alonze omuduumizi w’ekitongole kya Poliisi ekya ‘Flying Squad’ ekirwanyisa obubbi obw’emmundu mu ggwanga omuggya. Wabadde wakayita omwezi gumu gwokka nga alangidde eyali akikulira Herbet Muhangi wamu nebeyali akulira okugenda ku kitebe kya CID e Kibuli era nebasabibwa okuddamu okusaba emirimu bupya basunsulibwe. Olunaku lw’eggulu IGP Ochola yalonze D/SSP Peter […]

Omuvubuka eyakola ennyonyi afunye akabenje nga agigezesa

Nkaheza Joseph, okuva e Mwizi mu Disitrict ye Mbarara afunye akabenje mu nnyonyi gyeyekolera nga kati ali mu ddwaliro apookya nabisago. Ono okufuna akabenje abadde agezesa nnyonyi gyeyekolera ku luguudo lwe Mbarara – Kabale. Nkaheza ye Munnayuganda asoose okwekolera ennyonyi nga ekozesa petrol era nga ono yekolera ne pikipiki. Guno si gwemulundi ogusoose Nkaheza okufuna […]

Poliisi ye Naggalama ekutte abasajja bana ne Airtime wa MTN ow’ebiccupuli

Poliisi ye Naggalama ekutte Benin Biraaro, Robinson Muheki, Simon Bwambale ne Isaaz Akankwatsa ne Airtime wa MTN nga abalirirwamu obukadde 112.5. Bano poliisi ebadde ebanoonya okumala emyezi 7. Okunoonyereza kulaga nti bano babadde bakugu mukukuba airtime ow’ebiccupuli era nga babadde bamukubira mu Democratic Republic of Congo (DRC) nebaleeta mu Uganda nga bayita e Kihihi mu […]