Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi eragidde Bakaleke akwatibwe

November 23, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi eyisizza ekiragiro ekikwata eyali omusirikale waayo era nga yaduumirako Kampala n’emiriraano ACP Siraje Bakaleke. Ekiragiro kino bakiwaddeko ne DPC wa Buyende okunoonya Bakaleke mu maka ga kitaawe Mwami Matyama Amuza ku kyalo Innuula mu gomdolola y’e Bugaya.

Ono aweereddwa enaku 3 zokka okweyanjula ku kitebe kya Poliisi e Naguru. Bakaleke yabulawo okuva mu mwezi gwa October 2018. Alagiddwa okudda ku mirimu gye nga 25/11/2018 telunayita oba okulangirirwa nga eyadduka ku mirimu.

Bakaleke yawumuzibwa ku mirimu mu May 2018 okusobozesa okunoonyereza ku byali bigambibwa nti yenyigira mu kufera Bannansi ba South Korea obuwumbi obuwera 1.4 n’abantu abalala 9 era nga omusango gwatwalibwa mu kkooti mu September 2018