Asibiddwa emyaka 30 lwakusaddaaka mukulu we afune obugagga

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margaret Mutonyi aliko omuvubuka gwasindise mu nkomyo e Luzira akulunguleyo emyaka 30 oluvannyuma lw’omusango gw’okusaddaaka mukulu we afune obugagga okumukka mu vvi. 

Abdul Kawere ow’emyaka 19 omutuuze mu ggombolola y’e Busukuma mu Disitulikiti y’e Wakiso ng’akola gwa lejjalejja y’akaligiddwa ku kibonerezo ekyo.

Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Mallen Obizu, ategeezezzza kkooti nti Kawere yasaddaaka muganda wwe Ibrah Mbalangu ow’emyaka 24 mu 2015 bweyeekobaana ne mukulu we omulala Khalidah Ndidde wamu n’omusawo w’ekinnansi Abdul Ssenfuma.

Obizu ategeezezza nti Kawere yakubira mukulu we Mbalangu essimu ajje abeegatteko ye ne muganda we Ndidde  ssaako ne Ssenfuma babeeko negyebalaga era nebeesisinkana e Bweyogerere nebavuuga emmotoka okutuuka e Nakagere ku mugga Lwajjali ogusangibwa mu ggombolola y’e Ggoma mu Disitulikiti y’e Mukono nti awo Ssenfuma bweyabalagira bakutame banaabe ,  Kawere n’asindika Mbalangu mu mugga n’afa. Ate ye Ssenfuma omusawo w’ekinnansi yeesuula mu mmotoka n’afa ku lunaku lwebaakwatibwa.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply