Amasasi n’omukka ogubalagala binyoose e Kamuli lwa Togikwatako

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu Disitulikiti y’e Kamuli  enkya ya leero ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga wamu n’omukka ogubalagala  okugumbulula abantu ababadde beesomye nga batandise okutambula okwolekera amaka g’omubaka omukyala mu Palamenti owa Munisipaali y’e Kamuli,  Rehema Watongola.

Babadde baagala kumutegeeza nti bo nga abalonzi mu kitundu kino tebaagala awagire kyakutaganjula Ssemateeka okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga 75 kw’alina  okukoma okukulembera eggwanga.

Abantu bano bakulembeddwamu Ssentebe w’ekibiina kya DP mu bitundu by’e Busoga,  Moses Bigirwa.

Eggulire lino litusakiddwa Ramadham Wannume e Kamuli

Share.

Leave A Reply